Kimala Lyrics by King Saha


Laaaa
Waguan
Laaa, eeeh

Wano emirembe gyaliwo
Emirembe gyaliwo gwe jangu nkubuulire
Wano akamwanyi kaaliwo
Wano akamwanyi kaaliwo nga tumanyi okukalima
Ne ka moringa kaaliwo
Ne ka vanilla kaaliwo nga ne ka ppamba tulima
Bano abasajja baggyawo
Bano abasajja baggyawo era byonna okubizisa
Ate gwe olubagambako
Ate gwe olubagambako nti obwo buyaaye bwakubwa
Buli kimu bakimanyi
Ebitunyiga babimanyi baasalawo okusirika
Eh gwe olubagambako
Eh gwe olubagambako ng’empingo ziruma
Wano enguudo ezaaliwo
Wano enguudo ezaaliwo laba zonna okubomoka
Buli omu ali ku lulwe
Bategeka bugagga bwabwe abasajja baatuta
Emiranga egiriwo
Emiranga egiriwo bano abasajja bakyunya
Twagala batuleke
Twagala bagende kati plan tusala
Bannange batuli bubi
Bannange batuli bubi teri alina mirembe
N’akatono k’olina
N’akatono k’olina bali ready okukakomya
N’obulamu bw’olina
N’obulamu bw’olina tebeeguya era balumwa
N’embwa zaabwe zoogera!
N’embwa zaabwe baaziwa emirimu era mbu zikola!
Olaba amasomero
Amasomero mwalimu education naye yafa
Byonna ne babizisa
Byonna ne babizisa ffenna nga tulaba
Buli kimu bakimaze
Buli kimu bakimazeewo eggwanga lizika

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

Bakulu bannammwe baatuwarninga
Baatugamba nti abo abasajja beecanga
Bannammwe baatuwarninga
Nti akaseera kalituuka abo abasajja okwecanga
Era akaseera maama kaatuuka
Buli kyaliwo maama kyakyuka
Emirembe egyaliwo bye gyakyuka
Kati buli wamu emmundu zeesooza
N’olaba abakulu bwe bakaaba
N’olaba abavubuka, abato bwe bagakaaba
Ka sukaali n’okakaaba
Akava, akamere nako n’okakaaba kati
Buli kimu ne tukikaaba
Nga be tukaabira bali mu kukola bubaga yiii!
Emirimu ne bagiwamba
Okula n’obuuza ŋŋenda kukola ki?
Amateeka baagakyusa
Amateeka batwalira na mu ngalo kati!
Bano abasajja tubakooye
Njagala mufungize era tubagobe kati

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

Ekimala kimala (mutuleke)
Kimala (tusaba mutuleke)
Bye mubbye bimala (mutuleke)
Bimala (tusaba mutuleke)
Tuli mu miranga (mutuleke)
Wulira emiranga (tusaba mutuleke)
Mwatulimba (mutuleke)
Kati wayise ebbanga (tusaba mutuleke)

Maama n’akaaba (mutuleke)
Nga ne taata akaaba (tusaba mutuleke)
Jajja n’akaaba (mutuleke)
Nga ne neighbour akaaba (tusaba mutuleke)
Owa boda n’akaaba (mutuleke)
Nga n’omusuubuzi akaaba (tusaba mutuleke)
Buli omu n’akaaba (mutuleke)
Temulina kisa alaali (tusaba mutuleke)

Ekimala kimala!