Taata w’abaana nsaba ojje eno tuteeseemu
Brian Beats
Oh oh
Mpulira omutima gunnuma
Nina ensonga yange
Mwami nandyagadde tugigaayeemu
Binnuma, era nandyagadde tugiteeseeko
Tuyise mu mayengo mangi
N’ebizibu nga bingi
Naye nkukoze ki okumpisa bwotyo munnange?
Waŋŋamba toliyenda
Mbu era tolirabayo mundi ansinga
Biki bino bye mpulira?
Nti nno olina abakyala abalala
Mbu eyo gy’okolera, toyisa skirt mwami
Hmmm, nedda; kale bintamye
Nfuna amasimu ag’okumukumu, nga gakuloopa (aaha)
Mikwano gyange (hmmm)
Ng’ate ngeesiga nnyo (hmm!)
Mbu oyagala Juliana (bakulimba)
Oyagala Sarah (n’oyo bakulimba)
Oyagala Mega
Ne Ruth baŋŋamba yazaala balongo (eeeh nga bakulimba!)
Biki ebyo by’onoonya anansombera ensolosozi?
Togeza ne weegaana, abaŋŋamba mbeesiga
Hmmm nedda nedda
Munnange nkwagala nnyo oooh
Naye ekinnuma, munnange butanneesiga, aaah ah
Ng’ate nze nkukkiririzaamu nnyo nnyo nnyo nnyo
Ne bw’oba toli nange era nkwesiga, aha
Kimenya mutima, nga munno gw’oyagala
Takugaanira yadde
Buli kadde n’obeera mu kwewozangako oh
Kinafuya mutima, ogugwo n’ogwange eeh
Buli kadde n’obeera mu kwekubagiza
Muba temweyagala
Obusungu tebuva mu nju
Kale sirikawo mukwano
Ebyo bye bakugamba bakulimba
Oŋŋaanirangako, nange kimpa amaanyi okuresistinga
Ebikemo ebingi byempitamu
Obagobaganyanga, abo abaleetaleeta eŋŋambo
Tebaagala ssanyu baagala bakaaba
Okuguma nandigumye (guma)
Naye lwaki gwe gwebaloopa? (nange simanyi)
Nandigumye mwami (guma munnange)
Naye lwaki gwe gwebawaayira? (nange kye neebuuza)
Buli kimu okyegaana (hmmm)
N’ebituufu obyegaana hmmm
Abasajja nnyammwe y’omu
Luliba lumu amazima galivaayo oliswala
Ogamba onjagala onjagala nsiimye nnyo okunjagala naye
Lwaki oyenda? (nedda balimba)
Lwaki ongattika?
Tuula tuula ofumbe
Vva ku lugambo leka naawe
Abakuloopera ojje otunuleko ewaabwe onowulira
Abamu ba bufumbo bwalema
Abalala asanga y’awalula
Tewali kitiibwa mu maka gaabwe baagala obafaanane eh
Kale oŋŋaanirangako, ebisinga babeera balimba
Nga nze bwenkugaanira
Naye nga ebiŋŋambibwa bingi
Ensobi ziba za buntu
Munnange osonyiwangako lwebinsobyeko
Nga nange bwenkusonyiwa baby wange eh
Nange oŋŋaanirangako (oh baby wange)
Nzikirizza ebigambo bingi ebitambula (bingi, bingi nnyo)
Abatabuzi maama babadde bankubye bbusu nga mponye oh nga ndabye
Kale oŋŋaanirangako
Ebisinga babeera balimba
Nga nze bwenkugaanira
Naye nga ebiŋŋambibwa bingi