0:00
3:02
Now playing: Onkuba

Onkuba Lyrics by Mesach Semakula


Oseka ne nfuna ekizibu
Mwana gwe ontawaanya
Otunula ne ndaba ekimyanso
Naye, lwaki ombonyabonya?
Tunula mu maaso gange osome
Mulimu omukwano gwo
Ate oba ne mu bwongo bwange
Mulimu akatebe ko
Ne mu mutima gwange munda
Mulimu ekibanja kyo
Ky’ekyo ekimbonyabonya
Mwana gwe nkubuulidde nze
Nti mu bawala ba kuno
Noonyezza akwenkana yambula!
Nina omukwano mungi
Munnange byebyo bye nsuza

Alaali, alaali, alaali
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Ngezezzaako okwegumya naye bigaanye
Onkuba hmmm yeah, onkuba
Nataka nikuone sasa sasa
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Amazima laba laba oyaka ng’enjuba empya
Onkuba, onkuba

Nsonyiwa okulemerako mw’ekyo
Waliwo ekikusukkako
Mwana gwe wansukkako
Laba, mwana gwe wankubaakuba
Yanguwa, otuule
Mu katebe ko keereere
Era yanguwa, ozimbe
Mu kibanja kyo kyereere
Nabiterekera gwe wekka
Honey yanguwa olabe
Kuba walungiwa omu mu nsi
Gwe osaanira okuwa
Oli kibunoomu mu nsi
Gwe osaanira okulya ebyange

Alaali, alaali, alaali
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Ngezezzaako okwegumya naye bigaanye
Onkuba hmmm yeah, onkuba
Malayika, malayika we
Onkuba, onkuba ayayaya
Bint, bint
Bint, bint
Onkuba, onkuba hehe!
Sabula
Sasa ni ngoja
Myaka mingi nina ngoja

Sabula busabula, eh

Nkimanyi, abakukwana bangi gy’oyita honey
Naye manya, bonna baleera
Nze mugezi nzekka
Honey manya, bonna ba weewe
Nze master waabwe, oh maama
Na buli kimu baby ky’oyoya
Mu nsi nze kye ndeese
Walungiwa oh!
Amazima wakula ebirungi
Yanguwa nze, ndi kaliro akagoba empewo
Akasana akaberyeberye yegwe
Akamuli akalungi yegwe
Akadagala k’obulago yegwe
Yanguya doozi yange, hu!

Ayi
Ayi
Onkuba, onkuba x 2

Ayi
Ayi
Onkuba, onkuba (onkuba)
Ayi (onkuba babe onkuba)
Ayi (nga ndabye)
Onkuba, onkuba
Onsekula, ombobonga
Woowe woowe nga ndabye
Onkuba, onkuba
Ne bwe kuba kwebaka honey kugaana
Onkuba, onkuba
Ne bwe bampa emmere byonna mbigaana
Onkuba, onkuba
Emirimu gye nkola honey gigaana
Onkuba, onkuba
Onkuba, onsekula
Baby onkuba nga ndabye
Onkuba, onkuba
Ne bwe bampa emmere honey bigaana
Onkuba, onkuba