0:00
3:02
Now playing: Lutalo Lwa Mayinja

Lutalo Lwa Mayinja Lyrics by Pallaso


Oh la la la

Ebigambo by’abateesi bingi
Nkusaba mukwano tobula (tobula)
Negwosinga akabina n’awoza
Nti face gyebafa (mbu gyebafa)
Ate n’aboogera batiitiizi
Focus mukwano tobatya (tobatya)
Bbo bamanyi mbu embazzi y’ewaata
Ffe ku magezi kwetulya (kwetulya)
Tebakusuuza kayanzi ko
Bo bamale balonde eh eh
Tebavuluga ekyo ky’olina
Ng’ate nabo tebakirina

Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitukasukira ebigambo
Tulibizimbamu olutindo
Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitusiigako ebisooto
Tulibisimbako ebimuli

Mbalaba bangi bafa ku bubina
Nze nfa kiri ekiri munda
Mbalaba bangi bafa ku mafiga
Nze nfa kiri ekiri munda
Mpisa, n’akawoowo ng’omukwano ky’ekyo
Nakubamu visa, ya bulamu ng’omukwano ky’ekyo
Abafuuwa endere, tebamanyi na kyoli
Bigambo by’abalyammere, boogere bakoowe
Wamma ndimu omucuuzi gwo
Nkusaba nti tebakusubya (tebakusubya)
Buli muntu abe ku nnyanya ze
Tezivunda n’onnenya (tezivunda n’onnenya)
Ab’ebigambo babaawo naye
Ng’era naffe weetuli (ffe naffe weetuli)
Twabasomako mu bitabo
Kuviira eri Yesu gyeyava (Yesu gyeyava)
Tebakusuuza akayanzi ko
Bo bamale balonde eh eh
Tebavuluga ekyo ky’olina
Ng’ate nabo tebakirina

Herbert Skillz pon dis one

Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitukasukira ebigambo
Tulibizimbamu olutindo
Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitusiigako ebisooto
Tulibisimbako ebimuli

Mbalaba bangi bafa ku bubina
Nze nfa kiri ekiri munda
Mbalaba bangi bafa ku mafiga
Nze nfa kiri ekiri munda
Boogere, tebalaba kye tulaba
Ne Chameleone awo weyabaleka
Boogere, kasita tebituga
Ne Weasel Manisal awo weyabaleka

Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitukasukira ebigambo
Tulibizimbamu olutindo
Bwebalitukasukira amayinja
Tuligazimbamu ebisenge
Bwebalitusiigako ebisooto
Tulibisimbako ebimuli