0:00
3:02
Now playing: Binyuma

Binyuma Lyrics by Pallaso


Wamponya abaali balumya obulamu bwange
Nebamenyamenya omutima gwange
Nga sirina gwe nnyumiza bizibu byange (eeh, eeh)
Mwoto Sound
Wagenda n’onyiganyiga amapeesa gange
Neneerabira ebizibu byange
Na bonna abaali baamenya omutima gwange (eeh, eeh)
Baur

Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa
Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa

Oba nkuteeke ku nnyolo (eh)
Oba nkutijjise nkunaaze ga nsuwa (eh)
Oba nkufuule muwere obeere mu kibaya (eh)
Baby toba nga wantereka mu ccupa
Nsaana kukebera
Kyoba omanya kale natuuza niya
Eky’okukwagala wakinsomesa
Gwe beera nange tulipanga dunia
Birooto tubizimbe nga batulaba
Ekigambo love kankuwe
Kansige nkungulenga byensize eeh
Omwana maaso ga ndege
Nja na kumuwasa embaga makeke
Nalayira okumuta waakiri nfe
Mpozzi nga mwagala kukuma lumbe
You’ll be the mother to my baby one day
You know I love you from the first day

Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa
Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa

Oba nkuteeke ku nnyolo (eh)
Oba nkutijjise nkunaaze ga nsuwa (eh)
Oba nkufuule muwere obeere mu kibaya (eh)
Baby toba nga wantereka mu ccupa
Nsaana kukebera
Munnange lwotali eno nange sifuna tulo
Nze wootali obulamu bwansobera
Obwo obulungi bwo tebabutunda wano
Mu maduuka naye abayaaye baalibumazeeyo
Bast Media akutenda bwe walungiwa
Arafat, Feffe Bussi bakutumira
Onsiiba ku mimwa eno erinnya baliwulira
Guno omukwano mateeka

Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa
Ekilove kandeete
Okwagala omulungi binyuma
Ah walaayi binyuma
Obulabo kansombe
Kale nebwebuziba gwe tunuulira
Ah walaayi sitamwa

Oba nkuteeke ku nnyolo (eh)
Oba nkutijjise nkunaaze ga nsuwa (eh)
Oba nkufuule muwere obeere mu kibaya (eh)
Baby toba nga wantereka mu ccupa (eh)
Nsaana kukebera