Cheating Lyrics by Recho Rey


Invader! [St. Andrew Music]
Recho Rey [Yo!]
Its your bad girl fly [Yeah!]

It’s a weekend
Time ya kubejjuka na boyfriend
Twambale tutimbe move munda ky’endi
Tetuli bulijjo tuli different [Yeah]
Tuyingira ekibbaala nga tuvimba
Nga tunyumye ffe twesazze ebikumba
Tuba tugenze kukuba mu bbimba
Abagikutte nga olwo tugula emizinga
Binyuma oli n’owuwo nga bibasakata
Nga we bikukuba y’akutwala n’ewaka
Nga yajjako ettaala nga mugenda kwebaka
Kati ngenda out, totadinka mpaka!

Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otongulira beer
Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otonkubisa nzoga
Ngenda ku cheatinga tonight
Nyiinge osule mu ntebe
Ngenda ku cheatinga [Yeah]
Ku cheatinga [Yeah]
Ku cheatinga [Yeah]

Ngenda kunyiiga nfuneyo ka chali
Kangulireyo at least echupa bbiri
Baby, kino sikikola mu bubi
Naye nawe kitunulemu muli
Nsubwa bu chali obu nkwana [Obu nkwana]
Obu nsaba dance, ne ngaana [Ne ngaana]
Obunyiga squeeze, n’onyiinga [N’onyiinga]
Obusaba aka nnamba, n’ozimba [N’ozimba]
Today, sisigala waka mbiganye
Kyoka ne Yaka yaweddeko mbikooye
Kati, kati yita Uber etutwale
Oba kale nkuchaye
Ela kati ndekaamu [St. Andrew Music]

Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otongulira beer
Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otonkubisa nzoga
Ngenda ku cheatinga tonight
Nyiinge osule mu ntebe
Ngenda ku cheatinga [Yeah]
Ku cheatinga [Yeah]
Ku cheatinga [Yeah]

Mukwano kuno si ku dduula [Si ku dduula]
Naye nawe ffunamu ku nsonyi swaala [Swaala]
Wano tetwazze ku ttuula
Olinga agamba we ndya ku nkoko ndwaala [Eh!]
Atte tolowooza mbu nkukuula [Si kukuula]
Jjukira gwe mwami, yenze mukyala [Your wife!]
Wali walayira obutanumya
Kyoka nkugamba webuza-buza olaba kapiira
Lwaki ompozesa nga ali mu lukiiko
Nedda honey mpulirizako
Lekka waya tozinzijjako
Tontabula bwongo nga sukaali n’akagiiko
Onsiibya nnyo ewakka mbiganye [Mbiganye]
Kyoka ne Yaka yaweddeko, mbikooye [Mbikooye]
Kati sumulula wallet, daddy tunywe
Tumya litre, aka chupa akamu nkakooye [Huh!]

Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otongulira beer
Ngenda ku cheatinga tonight
Bw’otonkubisa nzoga
Ngenda ku cheatinga tonight
Nyiinge osule mu ntebe
Ngenda ku cheatinga
Ku cheatinga, ku cheatinga