Obusungu nina bunji mutti mukibira
nebwotema nkaaba naye nga tekimala
Olwemikwano nagakwano agataswala
bwofuna gagya gesese nga gafukamila
olwo kuzibwa nekisa obawa tobalondola
mubizibu obayamba ne byokunywa nogula
olowoza olinebaano ovawoo nebageya
kano no kakyelaga yita namakula akula
bwemwakula tebalina nsonyi befuula
osanga omwagalwa ngasibye engugu mbu akuviira
olwabassaja mukwano gwo bakukwanira
no lugambo lwamuletere agubye ekimala
jukira musa yali no mwogezi mukwanjura
mulimu gwegumu agukoze mpaka bawula
gegendereze botita bano nkulabula
walibwa bwomu ela olifa bwomu eno kampala
tewemalangamu abantu bagende mpola kuba tebajukira
tewemalangamu kuba oyo gwoyamba akualaga tolina byoyamba
tewemalangamu akatono akako kalyenga bababo
tewemalangamu abantu bantama abantu tebajukira
nekakutanda nokola sente nozikwatako oba nokuba kadeal nekakwatayo
bakunoya buli kasonda bazikukwateko ela obasembeze baziyengaaako
bakuwana butufu oleme kubejako balinda biyidde
bajje obawengako baduka newabwe anti ewuwo ojula nkoko
bagabile siganye naye ate lindako
kekalikutanda nobagabila byobagabilanga ngabikuweddeko
nogezako obakubila nti munyambeko
nkulayilila nti nessimu balizijako
luno silwazi nomulenzi byamutukako
bakuyamba kimu gwe mboozi gyebasibako
olukuvaako nekenla nebakudako
bogeera ntoko muko bantu ba pokopok
balingampewo awakana gwe keelako
chorus
nze akubulila nomala gwe nolwala
bogera ewatali nsonyi wadde kuswala
musajja watu oyosilimu yamutwala
yebamuzika wa siwamukampala mumyala
jjejo emikwano jetwabelanga mubala
cupa ku cupa tunywe paka nkela
ensi nzibu nyo belabila ebyo ebiseera
naye guma mungu yamanyi gyebigwela
manya teli yaliyo ngabakuzala
bagala alina baja bujinga nga nsweera
ebizibu bija baduka nze nbasoobera
togwamu manyi fukamira kanya salaa
nga yubu towanika gumila embeera
buliwetonya manya funayaka nkela
nebwegwaka nyo subila ela katonda yeka
yatalikulekelela
chorus