Mbadde ndi awo neerariikirira Nga mmanyi ebyange bisebengerera Nendowooza, nti oba nina Okukyusa ku by’okulya Nendya buli kimu nga wa! Kko nze bino nno byagala ddagala (yeah) Omubiri gwange gwonna Nga gukozze gunzigwako Nennumba Mulago mu b’omusaayi Gw’oba gwe olowooza ki? Omusawo n’aŋŋamba nina ekiwundu Ekiwundu ekiteetaagisa kutunga N’aŋŋamba kiri ku mutima Ate nga kiva ku bwongo Kko ye bambi oyinza n’okufa Ku kye ndabye naye nno
Ebyo birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Birowoozo Bindi bubi era simanyi oba alidda (ah yeah) Birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Birowoozo Bindi bubi era simanyi oba alidda
Hmmm, omutima gunnuma nentuula Nendowooza nti oba gwe mulwadde Bwempita mu kkubo n’abamu basemberayo Anti nninga omuzoole Naye wagenda wa? Oba wagenda wa mwami wange? Eeh eh, eeh eh (mwami wange) Okukomba ku ggulu Sirikiddamu, kye nakkola Kubanga binnuma binnuma Binnuma binnuma bindi bubi eeh
Bino birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Birowoozo Bindi bubi era simanyi oba alidda Birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Ah birowoozo oh Bindi bubi era simanyi oba alidda
Bino birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Bindi bubi Bindi bubi era simanyi oba alidda Bino birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Bindi bubi Bindi bubi era simanyi oba alidda
Birowoozo oh oh oh Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Maama bindi bubi Bindi bubi era simanyi oba alidda Bino, birowoozo Birowoozo by’ono eyagenda naatadda Bindi bubi Bindi bubi era simanyi oba alidda