Mukwano mbadde nno nnyiize okulinda nga todda Ne ngezaako ntegeke naye nga nnyabo obudde Omanyi essigiri zooku nkuba zikooya N’okuma amagulu kumpi kukuggwaako bwoya N’empewo n’eba nga nayo eriko ky’enoonya Ate nga gw’otegekera naye tatuuka Munnange nkwagala kufa Naye ka chai ka leero Oba tukanywe ku makya? Kuba essigiri yanzikiddeko Gwe oba ogikuma buto? Nze naye mbadde nabivuddeko Kuba naawe olwawo
Kati leka nkoleeze Naye naawe nno oyige Empisa otereeze Omanye nti munno wo yenze Munnange okulinda asooba bikooya Ne weewa omuntu nga naye ye tayiiya Gwe n’obeera awo ng’akulaba oyayuuya N’empewo n’eba nga nayo erina ky’enoonya Dear nkwagala kufa Naye ku luno eky’ekiro Oba tunaalya ku makya? Mukwano nfumbe ku makya Omuliro gwanzikiddeko Kuba mbadde nabivuddeko Kuba naawe olwawo