Bwolwawo Lyrics by Vivian Tendo


Nessim Pan Production
Vivian Tendo

Mukwano mbadde nno nnyiize okulinda nga todda
Ne ngezaako ntegeke naye nga nnyabo obudde
Omanyi essigiri zooku nkuba zikooya
N’okuma amagulu kumpi kukuggwaako bwoya
N’empewo n’eba nga nayo eriko ky’enoonya
Ate nga gw’otegekera naye tatuuka
Munnange nkwagala kufa
Naye ka chai ka leero
Oba tukanywe ku makya?
Kuba essigiri yanzikiddeko
Gwe oba ogikuma buto?
Nze naye mbadde nabivuddeko
Kuba naawe olwawo

Ebirwawo munnange byerabirwa ssebo
Bw’olwawo
Ne bwebeera enkoko osanga biwoze
Bw’olwawo
Bw’olwawo n’akwagala naye atamwa dear
Bw’olwawo
Munnange baatugamba ne nnyanja zikala
Bw’olwawo
Ebirwawo munnange byerabirwa ssebo
Bw’olwawo
Ne bwebeera ssupu osanga biwoze
Bw’olwawo
Bw’olwawo n’akwagala naye atamwa dear
Bw’olwawo
Mukwano baatugamba ne nnyanja zikala
Bw’olwawo

Kati leka nkoleeze
Naye naawe nno oyige
Empisa otereeze
Omanye nti munno wo yenze
Munnange okulinda asooba bikooya
Ne weewa omuntu nga naye ye tayiiya
Gwe n’obeera awo ng’akulaba oyayuuya
N’empewo n’eba nga nayo erina ky’enoonya
Dear nkwagala kufa
Naye ku luno eky’ekiro
Oba tunaalya ku makya?
Mukwano nfumbe ku makya
Omuliro gwanzikiddeko
Kuba mbadde nabivuddeko
Kuba naawe olwawo

Ebirwawo munnange byerabirwa ssebo
Bw’olwawo
Ne bwebeera enkoko osanga biwoze
Bw’olwawo
Bw’olwawo n’akwagala naye atamwa dear
Bw’olwawo
Munnange baatugamba ne nnyanja zikala
Bw’olwawo
Ebirwawo munnange byerabirwa ssebo
Bw’olwawo
Ne bwebeera ssupu osanga biwoze
Bw’olwawo
Bw’olwawo n’akwagala naye atamwa dear
Bw’olwawo
Mukwano baatugamba ne nnyanja zikala
Bw’olwawo

Bannange otunula ku ssaawa
(Eeh essaawa)
Ng’omwana wo akaaba
(Eeh ng’akaaba)
Mukwano otunula ku ssaawa
(Eeh essaawa)
Ng’omwana wo akaaba
(Eeh ng’akaaba)