Ensonga Lyrics by Carol Nantongo ft. Kabuye Ssembogga


Verse I
Taata wange omulungi
Nebwoloba ndudde,
Mbadde ninda kirungi
Sso ssi bingi
Nedda ssi siringi
Wabula omuntu
Anampeesa ekitiibwa mu bantu
Nzudde omuntu
Buli kimu ku ye kindabikira bulungi
Sigamba, nti ali perfect
Naye eeh, ali decent
Wano recently
Yangambye mmuleete immediately
Daddy nteesa
Omwana ono, mufuule wuwo
Mufuule wuwo ooh (eeh)
Carol bwoba bwogambye
Era nga bwosiimye, yanja ensonga

Chorus
Nsonga za love daddy
Aanha
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde
Otyo
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ngomusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga

Verse II
Gye bisookera nga mwakeeraba
Mu mukwano omungi
Nga buli omu aweeka ne ku munne, eeh
We buzibira, ate mwevuma lwaki, lwaki?
Ebyo byonna mubirinde
Mwekwase Mukama tewali kirema

Teri mugga guwalampa lusozi
Naye omwana oyo
Nze gwolaba antambuliza ku ntoli, eh!
Bulinga obutaakye, tebuwungeere
Nze byonna sisigazza mbimukwasizza

Chorus
Nsonga za love daddy
Aanha
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde
Otyo
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ngomusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga

Brian Beats

Verse III
Muli neebuuza
Bakola batya abaakunoza?
Ne babeera nga beekuuma
From Monday to Sunday!

Girl, omukwano kulinda nnyo
Era kugezaako

Nali mmanyi omukwano kunyiga ppeesa
Leero bakusuuta nnyo nokola ekyejo
Kyokka enkya ne bikyuka
Novuma nti embwa eyo!

Mwana wange
Ebintu byomukwano ggyamu amalala
Fuba nnyo obe ngeryenvu
Obufumbo makoona
Bukunyumira ogonze

Chorus
Nsonga za love daddy
Aanha
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde
Otyo
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ngomusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga