Anjagala Lyrics by Lyto Boss


Oh ruru-ru tu, la-la la
La la la
Birungo ki bye bassa m'mukwano?
Guno ogutusuza nga tutunula
Negukulinya ne kubwongo, ng'omusujja
Laba bwegukulesaawo abazadde
Maama ne taata boyagala ennyo
Nogenda n'oyo, gwewalaba oluvannyuma
Oyo eyakulira mu maka amalala
Naawe ne bakuzaala ewalala
Laba bwemusisinkana, ne mutta ekyama (hey)
Laba bwemugabana emitima
Era ne mufuuka muntu omu (oh oh!)
Ebya love, nga byewunyisa
Nze lwa kwogera nga agereesa
Nafunye nange omulungi, ih ih
Ne musuubiza, okumukuba empeta
Antijisizza m'mikwano
N'aboluganda abagambye, nti teri mulala, taliiyo
Nz'amusula mu birowoozo
Bambi anjagala talimba
Ankakasizza mubyakola
Omutima neguba muteefu, obutayuuga
Nina kuseesa m'mukwano
Kwongera ate ku muwembejja
Okufuna abalinga ono, kyo sikyangu
Obwesigwa kyamuwendo, kyetulina enyo okukuuma
Gwe bw'oba omusinganye, yooyo zaabu gwebatenda
Gwoyagala, bwomuwa eddembe
Kimugumya nti oba omwesiga
N'omukwano gwak'kuumira, temuba mpulunguse
Sijja kufuuka askari, nti nkuuma baby wange
Oyo katonda eyamumpa, ajja kumunkumira (oh-oh oh)
Bambi anjagala talimba
Ankakasizza mubyakola
Omutima neguba muteefu, obutayuuga
Nina kuseesa m'mukwano
Kwongera ate ku muwembejja
Okufuna abalinga ono, kyo sikyangu
New Article Entertainment
Josh wonder
I wanna fly with you, far away
I wanna be with you, baby
For the rest of my life
I wanna fly with you, far away
I wanna be with you, baby
For the rest of my life
Bambi anjagala talimba (ono talimba)
Ankakasizza mubyakola (oh oh)
Omutima neguba muteefu, obutayuuga (guno teguyuga, teguyuga)
Nina kuseesa m'mukwano (ka nsese)
Kwongera ate ku muwembejja
Okufuna abalinga ono, kyo sikyangu (ono mwagala nga bwaali)
Bambi anjagala talimba (ooh)
Ankakasizza mubyakola (mubyakola, byakola)
Omutima neguba muteefu, obutayuuga (guno ogwange teguyuga)
Nina kuseesa m'mukwano (ooh)
Kwongera ate ku muwembejja (oh baby, ih)
Okufuna abalinga ono, kyo sikyangu