Kabisi Ka Ndagala Lyrics by David Lutalo


Aah
Baby girl, eh!
Davie Lutalo
Kabissi ka ndagala
Wonna tukanywa kawoomerera
Honey manya ekibi nze bwe njagala
N'okukola kulema ndebera
Bwe nkulaba nga ndaluka
Nga byonna bye nsiba biwandagala
Omukwano gwo ddala ddagala
N'okulya olumu emmere ssiyoya
Alina omumwa ayogera
Nze bw'ova wendi baby ndaluka
Yadde nga beekaniikirira
Teri akusinga honey ntunula, eh!
Baby girl, wabula nkwagala ebya ddala aloo!
Pretty girl, ye nga nalyoka ne nva mu kyalo
Kati nno k'onkutte tonta
Buli wamu we nninnya wookya
Njagala kubeeranga wooba
Ggwe angabira love empeweeza
Tolekera bikole bw'otyo
Sinnasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde zo ku mwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Oba bayagala bakolime
Omukwano gwaffe guli mu bire
Ekinugu kibapika batulike
Bayagala kusanga bisibe
Nga tebamanyi na kumanya gye biyise
Temutuwabula kati mutuleke
Aah no no no no
Bazungira bbongo
Love yo entakula mu bwongo
Omukwano nange mmuwa kkonko
Ndi wano nesunga bu toto
Yalungiwa akira kaliba k'emmondo
Nze yanfuula na zonto
Tuba waka nga twezannyira ttepo
Ng'ampuusa ku ssupu w'empombo
Bae, nkwagala bw'otyo ng'otibula
Ng'okola byejo
Ebibala by'omukwano nga nnyongera kkungula
Ng'okola bw'otyo
Tolekera bikole bw'otyo
Sinnasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde zo ku mwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Double Kick
Yaled
Namatira onsobola
N'omutima gubuguumirira
Love yo mazima tebowa
Wakola ki okuntamya abalala?
Nkizudde bwotapapa
Ofuna birungi olya ku mpogola
Beera ng'onjagala
Ensulo z'omukwano nga ngogola
Baby ssirikyuka
Nkiggyira ddala mu nze munda
Ababi emitwe bazimbya
Tubeera era tuli wamu balimba
Bazuŋŋana nga mpewo
Bamanye balemesezza njolo, eh
Bagaga nga nkoko
Ffe tubakutule ebiwawaatiro, ah
Tolekera bikole bw'otyo
Sinnasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde zo ku mwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Hmmm na na (Davie)
Hmmm na na (he he he)
Hmmm na na (Lutalo)
Hmmm na na (he he he)
Hmmm na na
Hmmm na na