0:00
3:02
Now playing: Njalwala (remix)

Njalwala (remix) Lyrics by AaronX ft. Sheebah


(Intro)

Aaronx
Jacob beats
Oh-U-oh
Eh-I-eh (Sheebah, Kikube)

(Verse 1)

Mpitibwa kasajja lwaazi
Naye bw’ojja ngonda
Nze ngonderera ng’eryenvu
Alikunkyaaya gundi aliba wa ttima
Era sirimusonyiwa oyo
Okuva lwewalunjiwa otyo
Ensi yange ndala
Gwe wagikwakkulako oluuyi
Nze ndi muntu wa mirembe nnyo
Naye ekisajjula embeera
Kwe kukubulwa nti

(Hook)

Nakugirako akakoofiira
Bwenkulowooza ogamba ssikeese
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwa ffe
Lwe twasisinkana
Nze nakugiramu akateteeyi
Bwenkulowooza ogamba ssikeese
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku Lwa ffe
Lwe twasisinkana

(Chorus)

Eeehh
Iye iiiiih
Bw’ovaawo njalwala
Iye iiiiih
Bw’ovaawo njalwala
Nange baby (Bw’ovaawo njalwala)

(Verse)

Akabanga kekulungula
Olunaku olwo lwandeeta n’okutuuyana
Tokigeza kunzijukiza
Bye wayogera nga byakanyanga kunnyonnyoogera, mmmh
Togeza kwekuluutaza
Omutima gwange n’oguletera okulunguka, darling
If I could change and love somebody else
Somebody would be you (Kikube) (What!)
Onataka lala na nyonta
Kwe kumanya nti nze gw’oloota
Nze ngamba kyov’olaba ogonda
Omuliro mu nze gubumbujja
Enkalamata tejja nebw’etijja
Nze gw’ofunye nayit’emugga, ah ah ah
(Sha sha sha) (Kikube)

(Hook)

Nakugirako akakoofiira
Bwe nkulowooza ogamba ssikeese (I swear ssikeese)
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwa ffe
Lwe twasisinkana
Nze nakugiramu akateteeyi
Bwe nkulowooza ogamba ssikeese
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwa ffe (lwetwasisinkana), mmm
Ehh

(Refrain)

Iih yee iih
Iih yee iih
Aaaah
Hii yee iih
Hii yee iih

(Verse 3)

Kale nno bw’otyo nz’onjogeza ennimi
Simanyi lw’olindekoti
Nze ndyebikka ndi
Ekyo kiriba kirwadde
Kirindeka ku ndiri
Ndi kuweema butungo
Mwana gwe bw’oleka
Ssi ku buwoomi bw’omukwano oggwo
Era alikwenganga alimanya obuka
Kwolwo alimanya akanfaamu, yeah

(Outro)

Eeehh
Iye iiiiih
Bw’ovaawo njalwala (njalwala)
Iye iiiiih
Bw’ovaawo njalwala
Nange baby (Bw’ovaawo njalwala) (Sheebah, uh!)



About the song "Njalwala (remix)"

Njalwala (remix)” is the seventh song from Ugandan singer AaronX’s “My Love” EP. The Sheebah Karungi featured track is a remixed version of AaronX’s hit song “Njalwala”. “Njalwala (remix)” was produced by Jacob Beats (Jacob Pro) and released on July 11, 2024.