0:00
3:02
Now playing: Gumbunyebunye

Gumbunyebunye Lyrics by AaronX


(Verse 1)

Oba nga baby mwattu buno ssi bulogo
Kiki ekimpuliza bwenti
Oluusi n’omusana gukulindako, ozukuke
Gulyoke gwoleke obwenyi
Obulungi bwo bulindiisa emimbiri
Bw’oliba oŋŋana
Ndiba nfudde
Mmmmh, kye nva nkonkona
Ko ko ko ko leka nyingire
Mu mutima ggwo, gye ndijja otulo
Ooouu

(Chorus)

Omukwano ggwo gumbunyebunye, gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye, gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye

(Verse 2)

Obe gyendi
Kye mwekole balondeko omutima
Oliba ogukubye kayondo
Ye abange ooouu
Sembera wano
Nkolera ku kitigi
Kubanga omwoyo n’omubiri (baby)
Biri eno bikweswanta
Ne bw’olaba gutujja omubiri ne gwokya
Omutima gulinda ggwe omumbejja
Omuliro agubumbuza
Ne bw’olaba gutujja omubiri ne gwokya
Omutima gulinda ggwe omumbejja
Omuliro agubumbuza

(Chorus)

Omukwano ggwo gumbunyebunye, gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye, gumbunyebunye
Omukwano ggwo gumbunyebunye



About the song "Gumbunyebunye"

Gumbunyebunye” is the first track from AaronX’s “My Love” EP. The song, which was written and performed by AaronX, was produced by Jacob Beats (Jacob Pro). “Gumbunyebunye” was released on November 7, 2024 through Tunez Records, and distributed by Kelele Digital.