0:00
3:02
Now playing: Endongo

Endongo Lyrics by Kanta Pro ft. Fresh Kid, Felista, Ring Rapper, Kapilipiti, Melody


Kapiripiiti, Felista pon dis track again
Ring Rapper am the master oh na
Fresh Kid, Kanta Promotions
Big Davie run dis, oh na na

Ring Rapper
Tuli mabujje go Musanvu kwatibwa ekisa
Ffe okubeera ewaka tetusoma kitukosa
Emiti emito tuliddawa nga tetuyingiza?
Mu ndongo mwe mwali amaja nga twali tujjuza!

Kapiripiiti, Fresh Kid & Ring Rapper
Tuteere endongo, endongo
Muzeeyi bambi tute
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
Endongo
Tuggulire emiryango, emiryango
Muzeeyi bambi
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo

Felista
Yeah, okay gwe!
Felistar Di Supasta (yeah man)
Maama nnyabo the queen ate nga star
Tukimanye
Nti obulwadde bwa corona bwajja naye
Muzeeyi, tusaba tute tukole
Kubanga n’abamu gye tusula batugobye
Abayimbi wabula nga tubonyebonye
Kati abamu basulira mberenge
Basiiba njala abamu buugi ate nga bwereere
Ensi etagala kati tetukola kasente
Kyokka nga ku street mwana
Ennyimba za bwereere (not, right)
Tujja kugondera SOPs
President’s
Manyi ate waliyo abayaaye abaakolamu
Naye mu biseera bwe biti ffe tussa kimu
Tulinga baaluganda tetweyawulamu
Twegatte, twogeze eddoboozi limu

Kapiripiiti, Fresh Kid & Ring Rapper
Tuteere endongo
(Bambi) endongo
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
Muzeeyi bambi
Endongo
Tuggulire emiryango,
(Tuggulire) emiryango
Luno ssi lugambo
(Ssi lugambo)
Muzeeyi, tuteere endongo
Fresh (hmmm)

Fresh Kid
Muzeeyi nze muzzukulu wo Fresh Kid
Nange stage y’ennyambye to succeed
Nsibiddwa amagulu ndi mu need (ndi mu need)
Kigambo kyo ky’ekinsumulula mbeere loodi
Nsonyiwa naye yambalako mu zino engatto
Tuli ku mabanja anti twamalawo capital
Naffe tetuli bulungi wadde tuli bato (tuli bubi)
Tute tukole muzeeyi tuggyeko akazito
We also have responsibilities
Many are doing good but the majority bakaaba
They got nothing in their wallet
Tuwulirize at least, Fresh

Ring Rapper
Nfukamidde nkuwa ekitiibwa Kaguta
A Ring Rapper nga ndaajanira kututa
Muzeeyi bambi taasa eno twerya na nkuta
Ffe abazzukulu bo abato tolemererwa tuta
Many people look upon me (upon me)
Father, mother, brother deh ma call me (call me)
Many people look upon me
Father, mother, deh ma call me

Kapiripiiti
Kapiriiii Omubaaya
Tell dem sey, kano ssi political
Scientifical, temukiraba bubi
Ndeeta kusaba kwange
Endongo tenyigiriza bayimbi bokka
Abasiisi ba chapatti ssaako n’abo aba boda
Abakubi ba banner n’abalala abeŋanda
Lives teri, life back
Really, obulamu bukyukanga bulijjo
Kwambala mask kwekuuma nga bulijjo
Social distance, sanitizer
Ekisuubizo tugenda kwekuuma, ha
Nayimbiranga ba fan bange
Naye kati mbeera waka gye mmalira ebyange
Nsigadde nze Kapiripiiti
Ghetto Ambassador w’abato mu Ghetto
Ng’omuto mu bato Omubaaya omuto

Kapiripiiti, Felista & Fresh Kid
Tuteere endongo, endongo
Muzeeyi
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
Kiri bubi
Tuggulire emiryango, emiryango
Tuperforminge
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
Tuteere endongo, endongo
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
Tuggulire emiryango, emiryango
Bannange muzeeyi tute tufa
Aah ah, wuwi, maama acaca
Luno ssi lugambo
Muzeeyi, tuteere endongo
No no no no no
Kisoboka muzeeyi