Mwagala Ki? Lyrics by Chosen Becky ft. Chris Evans


(Intro)

Yansakata emiggo nengwa eri
(Olimba ki?)
Yantegesa emikolo natajja (uhh)
(Baur)

(Verse 1)

Mwagala naye atte ansobedde
Byakola nga biruma
Ndowooza kye kiseera muviire
Nga nfubye naawe okiraba
Nze kazibe ssente nzimuwa
Nandiki mamotoka
Kati Yokaana omwavu
Mpulira mbu gwayagala
Ntunulira amafigure naawe
Omubiri kiki yenze kyesirina
Alekawo ebyange maama
Mu katale nalamuza mukene

(Chorus)

Mwagala ki?
Abasajja mwagala ki?
Aaah, naye abasajja mwagala ki?
Nomukolera ebirungi n'obimalayo
Oooh, naye nga talaba
Mwagala ki?
Abakyaala mwagala ki?
Aaah, naye abakyaala mwagala ki?
Nomukolera ebirungi n'obimalayo
Oooh, naye nga talaba

(Verse 2)

Namuzalira abaana kata nfiire mu leeba
Obulungi bwange buno
Teyabulaba yayenda kale
Ku friend wange [?]
Nalowooza nti lwa figure
Ne ŋŋenda mu gym nange
Era kati figure nafuna
Naye abasajja bazibu
Maid wange figure ya zero
Nabakwata red-handed
Naye kiki abasajja kyemuffa

(Chorus)

Mwagala ki?
Abasajja mwagala ki?
Aaah, naye abasajja mwagala ki?
Nomukolera ebirungi n'obimalayo
Oooh, naye nga talaba
Mwagala ki?
Abakyaala mwagala ki?
Aaah, naye abakyaala mwagala ki?
Nomukolera ebirungi n'obimalayo
Oooh, naye nga talaba

(Verse 3)

Ye maama hee hee!
Ye maama hee (Mwoto Sound)
Ku bulungi bwange buno
Ddala mukwano gwange oli yansingaki?
Mwatu byetuyoya abasajja biwera
Kati bwaaba yali abifunye
Mu mukwano gwange atte maid amwagazi ki?
Kwate essimu yo omukubire okimubuuze
Ku bugagga bwange buno
Ddala ekyamwagaza omwavu kyali ki?
Time gyemugaba abagagga tewera
Omwavu bwe yamuwa time
Kati omuvubuka omuto ono yali waaki?
Kwate essimu yo omukubire okimubuuze

(Outro)

Mwagala ki?
Abasajja mwagala ki? aaah
Aaah, naye abasajja mwagala ki?
Nomukolera ebirungi n'obimalayo
Oooh, naye nga talaba
Yansakata emiggo nengwa eri
Obuzibu taliiwo oyo gw'oyogerako
Tobanga omuwayiriza tumuyite omulumirize
Yantegesa emikolo natajja
Obuzibu emikolo ogikaka bukasi
Omusajja muwe obudde agikole nga yetegese
Yandiira obussente nabumalawo
Obuzibu Rebecca okyamuka nnyo
Kasita teyaziba bubi
Ggwe yemuwa tokyakyaala


About the song "Mwagala Ki?"

"Mwagala Ki?" is a song by Chosen Becky featuring Chris Evans Kaweesi. It was produced by Diggy Baur at Mwoto Sounds studio, and released on January 21, 2025. The music video for the song was shot by JahLive.