Nkusaba ntegera amatu nkubuulire Ky’otegeeza gyendi N’amaaso geegeke, ku nze Nkunnyonnyole kye nazuula mu gwe Gwe bulamu bwange Nkulowoozaako, every night and day Era gwe ssanyu lyange Sirina kyenejjusa nze bwenkwagadde Ng’ekitangaala omusana lwegutayase Emmunyenye eyakaayakana mu kiro Olinga kimuli enjuki zekitataliza babe, eeh Ompuliza ng’ekyomuwendo Eky’ebbeeyi ng’olugoye lw’amasanga Nebwemba nkusuubula magendo Nga nsinga bulamu baby eyo risk gy’ogwana Nkusaba tonvangamu
Nkusaba let it rain, let it rain Omukwano gukule Nkusaba let it rain Omukwano guwangaale Nkusaba let it rain, let it rain Omukwano gukule Nkusaba let it rain Omukwano guwangaale
Mbu ebirwa byerabirwa bwebagamba Sijja kukyusa Gwewaalabyeko ye mwana kye mmanyi Nze awo we nalaalira Sijja kusuubiza bingi bye siyinza Mba nkulimbye Nandyekaniikirira ne neewanika ne nnemwa Mba nkunyiiza Love gye nina Ky’ekyobugagga kye nina kye neesiga Bwentyo bwendi Sirina bingi, naye nina gwe Kati kansuubize, ndibeera wa mukwano Era ndiba wuwo ppaka essaawa envannyuma Terulikya nkuleke Ndiguma wamu naawe, wamu naawe eeh
Nkusaba let it rain, let it rain Omukwano gukule Nkusaba let it rain Omukwano guwangaale Nkusaba let it rain, let it rain Omukwano gukule Nkusaba let it rain Omukwano guwangaale
Nga ntendewaliddwa mpambaatira aah (aah) Nga ne lwentubidde nkulinda alina amaanyi eeh (aah) Ku gwe nakula N’essanyu nafuna, hmmm Ku bibyo kwe mbalira Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira, eh Sijja kusuubiza bingi bye siyinza Mba nkulimbye Nandyekaniikirira ne neewanika ne nnemwa Mba nkunyiiza
Ku gwe nakula Nkusaba let it rain N’essanyu nafuna Omukwano gukule Ku bibyo kwe mbalira Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira Omukwano guwangaale Ku gwe nakula Nkusaba let it rain N’essanyu nafuna Omukwano gukule Ku bibyo kwe mbalira Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira Omukwano guwangaale Ku gwe nakula