Nkulowozaako Lyrics by Eddy Kenzo


(Intro)

Oh ye yeah!
Oh ye yeah!
Oh my Girl

(Verse 1)

Amazima ndaga omutima
Omutima ogwa zaabu maama oh
Nze gwolaba nfubye okukola
Buli kalunji nenkakuwa nfuuke balo
Okwaagala kuli eno kunsumbuwa naye
Gwe omutima gwo musanyufu
Nange njagala manye woosula
Tubiteekemu obugunjufu
Obudde buliyitawo nga weekoza
Love njagala nkuwe mu bujjuvu.
Mu mazima lwaaki,
Tonsasilako naye nawe
Oyagala nkole ntya kale
Nga webuusa
Tewenyenya

Chorus:
Nkulowozaako
Lwakuba maama obeela wenkyanga
Nkumisinga nyo nyo nyo
Ekinuma lwaki oba ogaana

Obudde bwekiro
Sikyeebaka mbeera nekyuusa
Luliba lumu nabasezi balimpulira
Mukwaano nyamba

Verse 2:

Nebwenkuleka
Ogenda nonyoola amaaso
Ela nyabo neganziza
Katonda muka
Eyakutekako face
Buli lwenkulaba nenyumirwa
Amaanyi g’omukwano ago genteekamu
Eh Singa naawe ogenyigilamu
Gwe bwobeela eyo obeela mulamu
Nze bwembeela eno mbeela mulalu
Yi naye maama okwaagala kubi
Kati laba nzenna binsuza bubi
Ndayira nomatila
Silyekyusa, Malaika

Chorus:
Nkulowozaako
Lwakuba maama obeela wenkyanga
Nkumisinga nyo nyo nyo
Ekinuma lwaki oba ogaana

Obudde bwekiro
Sikyeebaka mbeera nekyuusa
Luliba lumu nabasezi balimpulira
Mukwaano nyamba

Verse 3;
Precious girl for me
Walunjiwa bulala listen to me
Nkusaba obakyawe nga bali
Ontuuze mumwooyo,
Nze manyi bili
Oh my friend
Sigala nange oleme okwejjusa
Abalala bate
Nze bwembeela naawe sijja kwetuga
Omukwano gumpe mama
Gumpe baby, gumpe sweetie
Omukwaano gumpe darling

Chorus:
Nkulowozaako
Lwakuba maama obeela wenkyanga
Nkumisinga nyo nyo nyo
Ekinuma lwaki oba ogaana
Obudde bwekiro
Sikyeebaka mbeera nekyuusa
Luliba lumu nabasezi balimpulira
Mukwaano nyamba