Wululululu Gundi gwe Wuuyo mukwate Wuuyo asala emyaka Wuuyo goba Kwata kuba Kuba ku nnyama Wuuyo asala emyaka Maama
Moskhan
Tokigeza N’olimba emyaka Tokigeza Ne weesiba ku myaka Tokigeza N’osala ku myaka Mwaka ku mwaka Tukuyite nga mwana? Tokigeza N’olimba emyaka Tokigeza Ne weesiba ku myaka Tokigeza N’osala ku myaka Mwaka ku mwaka Tukuyite nga mwana?
Desire Luzinda wazaalibwa mu mwaka ki? Toli sure ng’ate okuza amazaalibwa? Buli mwaka tova ku abiri mu gumu! Simanyi okwezza obuto wagufuula mulimu? Erinnya Kaguta twaliwulira kuva buto! Oba lyo ly’ekkulu nga nnyinilyo okyaali muto! Ronald Mayinja emyaka nkuteerewo emeka? Oba oli Cathy eyakula mu kyenda nga y’akavubuka Baaba Sheebah nali mu P.2 ng’ozina Kaliyoki Kyokka nzadde okyasitamira ne ba bbebi Wamma mmwe Chameleone mulowooza alina emeka? Definitely ekyo kyama kyaabwe ne Mwami Ssali Maama ow’ekitiibwa Halima Namakula Chance Nalubega mbu ku ggwe abeera mwana! Wamma Titie Katongole Ye wa ddi? Kasuku gwe atatya Joseph Batte alina emeka?
Amooti tewegaana myaka kuba gigyo Gyeweeyitiramu Boogie Woogie nagyo gigatteko Iryn ne Juliana wano munnyambeko Eyazaalibwa mu nsanvu kati abeera mutiini? Tamale Mirundi tunyumize eby’enkaaga mu ebiri Sikubuuza by’abayimbi Straka yabitunyumiza Mbu baaliwo ne Jenkins Mukasa ne Zari Nga flag ya Uganda ewanikibwa ku meefuga Ate ggwe owooluganda Doug Lwanga Herbie K, Ssenkubuge, Ndausi muli ba ddi? DJ Jacob Omutuuze mbuuliza Shiru Ambuulize Peter Sematimba ne Gaetano Dr. Bbosa Nakawunde nga byadda nnyo! Kuba Flavia Namulindwa abinyumya nnyo Nga mbalumbye ki temumbuuza nina emeka? Ndigibagamba ng’ayatudde agiteera ku emeka
Music industry eno anti nayo famire Tulina akulira ekika Benon Kibuuka Abalala emyaka gy’egyabaweesa ebitiibwa Omwana bwenkola ensobi bbo nga bangalamiza Muzeeyi Bebe atakutya gwe ntya! Kojja Chagga akutenguwa empi mwokya Maama Bella yonna gy’ontuma nze ȠȠenda Taata Viboyo Oweyo muludde mu kintu Ssenga Justine Nantume oli Jjajja Mukyala Jjajja musajja Mr. Amooti baasoma bombi Sheila Gashumba nyumya ebya Rasta Rob ku knob Don Zella nno naawe oli baaba wa kojja Jjajja Mad Tiger banno nga tebakkiriza? Nkoonera ku bagandabo Orlandoh ne Ragga Dan Wamma taata Rocky Giant nina ekibuuzo Kituufu baaba Richard Kasenda yawa ku musolo?
N’olimba emyaka Ne weesiba ku myaka N’osala ku myaka Tukuyite nga mwana?