A winner Oli muwanguzi muganda wange Am a winner Topowa toggwaamu ssuubi
Am a winner I will never be a loser, aah Naawe oli winner Topowa tofuuka loser, aah Naawe omuvuzi wa boda oli muwanguzi Am a winner Avuga boda ekiro mu mpewo Ng’onoonya ezibeezaawo amabujje I will never be a loser, oh no Asindika ekigaali naawe oli muwanguzi Naawe oli winner Avuga takisi ne kondakita muli bawanguzi Topowa tofuuka loser, aah Temuggwaamu ssuubi
Kano nkayimbye nkajja ku mutima Nange neebuuza nze ani wamma? Gwe baavuma mbu nfaanana enkima Kati nkuba shows ne ziwuuma Nga nasomba scrap n’ebyuma Ng’abalala bagamba ncuuma Mu baana bonna tebaŋŋema Mu byaddala obulwadde bwannuma N’okusoma blood kwalema Saapowa era obulamu tebwantama Nze kye manyi Katonda gyali Nasula ku carpet, ng’obuliri tewali N’ebivvulu ebyali ku nkumi bbiri Omutujju nayitanga mu kituli Ng’obuzibu muzeeyi bumaali N’abakazi nga bampita bbali Kati ndi winner be bankubira entoli Trouble, Ttabu
Oli muwanguzi omuyimbi akyeyiiya Olaba Eddy Kenzo ava ku street N’atuusaawo stamina! Ne Bobi Wine muwanguzi Yava mu Ghetto z’e Kamwokya N’agula eryato ery’akabenje Oli muwanguzi askari Okuuma mu kiro empewo N’ekufuuwa toggwaamu maanyi Omutembeeyi oli muwanguzi Toggwaamu ssuubi oli muwanguzi Okay okay
Bw’oba mwavu oba kyeneena Ne b’omanyi nga banno bakwegaana Buli akulaba agamba tosaana Balinda kuŋŋaana ku ntaana Bakuwe obuyinja nga bakuwaana Bw’oba tonazaawa bakugeya nkoona Oli muwanguzi yongera kazana Saasira oyo taata w’abaana Atembeeya ebinyeebwa mu musana Mu city City Council tagiwona Gwe akyasoma gira ng’opambana Time gy’omala toddamu gifuna Abatunda ebinyeebwa kitaawo ye winner Mwaweeredde ne baganda bo munaana Abamu bamazeeko abalala ne bigaana Naye era taata wo essuubi akyalirina Kitaawo ye winner essuubi akyalirina Kitaawo ye winner essuubi akyalirina
Oli muwanguzi eyetikka emigugu mu kibuga Toggwaamu maanyi Oli muwanguzi ow’amaduuka Ku Mukwano Arcade toggwaamu ssuubi Omusuubuzi mu kikuubo Toggwaamu maanyi Atunda emmere n’enyaanya N’obutungulu ku kkubo Owa loan ng’ekulemye okusasula Toggwaamu maanyi Ojja gisasula Okay, towummula
Ewa Kisekka abakyala beetala Banoonya ssente anti zaabula Kasitoma emmere on’ogula? Nedda bambi mpozzi ng’ompola Owulira ennaku bw’emusensera Maama atunda kasooli ku bbala Ssente zekikazi zo ziva wala Ewaka atuukira ku ngwala Ssente ziriwa z’ova okukola Nze njagala kuzannya zaala Bambi zaakoze nga taata azitwala Bwajjukira emmaali ye gye yajja ewala Ng’olwo aguma omutima guyimirira Amanyi akeera mu Owino kukola Kumbe omuliro gwokezza emidaala Agenda alowooza nti bamufera Asanga vvu lye bali mu kwera Asanga vvu na miranga
Oli muwanguzi ayoza emmotoka Mu washing bay Toggwaamu maanyi Omupangisa akyapangisa Toggwaamu ssuubi Atunda eby’okulya mu Taxi Park topowa Omulimi asuubula amatooke okuva e Kasese N’agayingiza ekibuga Toggwaamu ssuubi Omuzannyi w’omupiira naawe bw’otyo Malaaya eyeetunda ku kkubo topowa Tokifaako okijja ku mutima Okola kubeezaawo mabujje Naawe akola mu bbaala Toggwaamu ssuubi
Kubanga ggwe atulwanyisa Naawe olina eriyo akulwanyisa Hmm oyo akugoberera Amanye naye alina amugoberera Yeah man big up on yourself Number one Producer Renix Alongside oyo chali oyo Ron A Power Records A Power Production Yeah man