Be be be be be Be be be be be Be be be be be Eh eh eh eh eh
Ffe eno tubonaabona Bo bali mu ntebe Tusula njala Bo bali ku nkoko Ffe eno tubonaabona Bo bali mu cover eyo Bawuuta ssupu
Batujooze nnyo Batujooze nnyo (kwata) Tetulina na bwogerero Kitususseeko Kitususseeko Kati n’emmere ya kigero Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi Bajooga nnyo Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change Kyetuzzaako
Yalyose n’etonnya twalabye obuziina Abakulembeze ekisa nga temukirina! Siri munnabyabufuzi era temunnona Naye mmwe mweroopye mwekka nga mukaayana! Mu nnaku gye tulimu nga tubonaabona Ng’amazima ensi zonna ziri mu kulaajana Naye mmwe muli ku musimbi mugugabana Ne mwerumiriza nga tewali kuwakana Kino ekiriwo ka kibaanike mu kasana Tukakasizza nti temufa ku batalina Emiggo gye mutukubye ssi za ku bubina Mutukubye ku mutwe ate nga bwe mutusuna Matooke ge mulya musibisa na luyina Ffe n’akawunga tukanoonya tetukalina Katusabe Katonda yekka y’alitujuna Lunaku lulikya abaluvu ne tubawona
Batujooze nnyo Batujooze nnyo Tetulina na bwogerero Kitususseeko Kitususseeko Kati n’emmere ya kigero Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi Bajooga nnyo Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change Kyetuzzaako
Tusirise nnyo naye nga temutufaako Bwe musala enkoko byoya bye mutuwaako Tutandise onafuwa emyaka gituweddeko Naye olukiiko lw’abaluvu lulemeddeko Kati nno twekyaye naffe katwogereko Eby’okusirika abatuuze tubivuddeko Lino eddoboozi buli muntu limutuukeko Buno obusajja ndaba bwagala kutulinnyako Buli omu gy’ali yonna kino kikukwatako Eddembe ly’obuntu lwaki lituggwaako? Ab’amaduuka mulowooza ki ekiddako? Boda ne Takisi essanyu libaweddeko Tetukola ate landiloodi azitukwatako Ab’amasannyalaze bo Yaka bamuggyako Bwe twali twatereka bwonna butuweddeko Tuli mu loan, emmaali zaatuvundako
Batujooze nnyo Batujooze nnyo Tetulina na bwogerero Kitususseeko Kitususseeko Kati n’emmere ya kigero Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi Bajooga nnyo Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change Kyetuzzaako
Omuwi w’omusolo gyali tateredde Kubanga gwawaayo mpaawo waafunidde Abatukiikirira zonna baaziridde Omuntu wa wansi tebamujjukidde Olaba beegabira ensimbi mu bulwadde! Teri kuzizzaayo abamu baalayidde Mu mazima nga tuli waka tweggalidde! Maama akaaba n’amabujje tegalidde Funamu ku nsonyi ku myaka gy’ofugidde Abantu baagumye batudde bakkalidde Naye n’ekyokulya ewaka tokibawadde Mukama taata tusaasire tuswadde Mululu n’enguzi bisinze ku kirwadde Tuli mu mikono kola nga bw’oyagedde Kabalye baabike ffe tubakulekedde Sirina bingi kuyimba kwe nsobodde
Batujooze nnyo Batujooze nnyo (kwata, kwata) Tetulina na bwogerero Kitususseeko Kitususseeko (koona, koona) Kati n’emmere ya kigero Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi Bajooga nnyo Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change Kyetuzzaako Oooooh