Intro Yeah, Recho Rey Yeah, JR Imagine Uganda When this is Uganda [Haha] [Seth Andrew Music]
Verse I Nga kuno tekuli bya monopoly, buli kamu tugabana nga family [Yeah] Nga tewali bukenuzi [Bukenuzi] Alya enguzi aba kapere [Kapere] Nga ba kifesi bawejere be twegomba nga tewali bufere [Yeah!] Labayo what if [What if] Nga ffena emitima gitukula Eyandibadde akuloga nga yali mukanisa akusabila Twandibadde mu love [Mu love] Eyaddala from above [Above] Naye abantu bakyamu, olaba batukuba kalifomu
Verse II Ddamu siiga ekifannanyi, ekya Uganda omutali bukyaayi Nga tugabana kachayi Tekyali na bya kuyiwa musaayi Imagine Uganda Omutali kasasilo [Kasasilo] Nga buli lunaku tukola bulungi bwansi, nga tewali wawunya [Tewali] Nga cholera tetumutya [Tetumutya] Ne corona tetumutya [Tetumutya] Ggonya nga zetutya, anti bwezitalya zitulya Ye ffe Banayuganda [Banayuganda] Tuli Banayuganda [Banayuganda] Ebinyigiliza abalala tubivemu tebituzimba [Tuzimba]
Bridge Tuve mu katemba [Katemba] Buli kimu tukisobola [Yeah] Just tekamu biddi [Biddi] Ffuba nga Moses Golola
Verse III Imagine Kampala [Kampala] Omutali street kid [Kid] Nga bafuna support [Support] Nabo basuleko nga ba boss [Ba boss] Nga enjala tebasula [Yeah] Bwe bayoya ebiffi nga bafuna [Bafuna] Mu masomero basoma Life yandibanyumidde obutakoma Imagine what if [What if] Uganda yatuli kumitima [Yeah] Nga tuwagila Villa, KCC, Vipers okusinga zi Arsenal [Yeah] Onyango ye De Gea [De Gea] Mia ye Messi [Messi] Ochaya ye Marcelo, osanga twanditutte World Cup
Verse IV Wama imagine [Imagine] Ssinga abayimbi bali tebaffa [Tebaffa] Ssinga mu nsi ffe tufuga Ssinga ffe tutegeka ne zi Grammy Kafeero yandibadde ne hit [Ne hit] Ne Philly ne hit [Ne hit] Radio ne hit [Ne hit] Basudde zonna hit [Ah!] Naye tukyali mu ntalo, UPRS etukubisa bibalo Etuyita kulitalaba batusosola, David Lutalo Kubamu akafananyi [Yeah] Ssinga Makerere ye Harvard [Harvard] Nga teli anyigilizibwa, nga teliyo na kwekalakasa [Teli] Twandibadde mu harmony Degree first class nga zetufuna Naye entalo ezitakoma [ezitakoma], ze retake zetufuna [Zetufuna] Twandibadde babangufu, nga tetwaga bachuba Twandibadde basanyufu, olwegulo nga tunywamu ku buchupa [Yeah] Uganda my motherland [Motherland] Nga Katonda ye taata [Taata] Tukomye enkokola Twezimbe nga tetutoma [Yeah]