0:00
3:45
Now playing: Amaaso Abirii

Amaaso Abirii - David Lutalo

Esaawa ng'egenze (gwe laba otudde, nga naye obudde bukuwedeko)
Otulo gwe tukuute (it's DJ Erycom in the mix)
Agamba mwana wange ebirungi biibyo twala
Gwe tomufaako, olinda mpozi ku lwala
Asaba omufisizeewo ku kadde, eya kutonda onyigawo akaseera
Katonda nannyini nsi
Tumussa ku kanayokya ani
Tweyita baana ba ani?
Mukama tumujooga bujoozi
Oh oh, nga tetuswala
Buli lunaku netupaala
Twefudde abatamulaba
Ng'ebibye twongera bbirya
Mukama atusimbye, amaaso abiri (gwe laba otude, nga naye obudde bukuwedeko)
Ayagala tukyuke tude gyali, twenenye (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)

Katonda wange omulungi
Taata ampisa m'matumbi
Omutima n'omwoyo gwange bibyo
Nabikukwasa obisumbe
Buli kimu ekyange kakibe kiki, nakirekera gwe mukama
Abomumaka gange, ne bamuliranwa
By'oyagala babikole
Nsaba bukuumi mu byenkola
Ba malayikabo banyambe
Nsaba tuswaze, bano abagenda bewunza
Bagenda bavuya, mbu enkomerero y'Ensi ekoma wano
Nze mukama nsaba entebe mu gganalyo
Ntule ne malayikazo enkumi, nesiime!
Mukama atusimbye, amaaso abiri (gwe laba otude, nga naye obudde bukuwedeko)
Ayagala tukyuke tude gyali, twenenye (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)
Mukama atusimbye, amaaso abiri (gwe laba otude, nga naye obudde bukuwedeko)
Ayagala tukyuke tude gyali, twenenye (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)
Nze wama Mukama buno obulamu bwange
Nabukuwa kati sitaani aswale
Mwe ebegulumiza ddala mbasekeredde
Amaaso mwafuna naye nga gaffa togge
Tebiraba, amanyi gamufiraki eyabikola?
Twenenye atusasire
Ate bwakuwa omutonzi okola bubi obutebazza

Nawe ki kussanyusa, singa gwewazala aba awulira
Towakona kikwekabya
Embuzi gyewalunda bwetava maatta, olwo ye Katondawo (eh)
Mukama atusimbye, amaaso abiri (gwe laba otude, nga naye obudde bukuwedeko)
Ayagala tukyuke tude gyali, twenenye (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)
Mukama atusimbye, amaaso abiri (gwe laba otude, nga naye obudde bukuwedeko)
Ayagala tukyuke tude gyali, twenenye (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)
Esaawa ng'egenze (gwe laba otudde, nga naye obudde bukuwedeko)
Otulo gwe tukuute (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)
(Esaawa ng'egenze) (gwe laba otudde, nga naye obudde bukuwedeko)
(Otulo gwe tukuute) (Katonda omusudde, labayo n'odda mu pokopoko)