0:00
3:02
Now playing: Mukama Katonda

Mukama Katonda Lyrics by David Lutalo


Mukama Katonda ggw'ofuga
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga, aah
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Oh ooh, Mukama Katonda wange
Omusumba atambuza obulamu bwange
Era akakanya empologoma ng'ekaayidde engabi ku ttale
Gw'amanyi amagenda gange
Omusaale m'majja gange
Na bino nabikukwasa, nsaba taata onnyambe
Gw'aleeta amaanyi
Abalabe bange ne bavunnama wendi
Mpa amanyi, nwanyise abakaafi
Bonna amaaso bankanulidde, eh
N'abamu nga bantaagudde
Ky'ova olaba bino mbikuwadde
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Mukama Katonda ggw'ofuga (oh oh)
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga ah ah
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mu by'ensi sigitya Mukama
Ne bwemba sifunye mapipa
Ntambulira ku gwe wekka, Mukama Katonda
Mu mutima mundimu maziga
Olumu mpaala tondeka kubula ah ah
Ndi awo simanyi gyendaga
Nzibula amaaso, oh
Bantu bannafe beeyisa bubi dunia kali
Gw'owoze akuwenja na biso or gun
Ngenda mpalabana n'ensi egaanyi, oh oh (eh)
Mukama taata (taata)
Omukono leeta (leeta)
Omuyaga bwe gujja (bwe gujja)
Mpone okuyuuga (mpone okuyuuga)
Nsabye nkusumbuwe
Buli kimu ekyange onkuumire, ooh-ooh
Mukama Katonda ggw'ofuga
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga ah ah
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Newaddeyo mu mikono gyo Mukama Katonda
Gw'omanyi musumba wange
Ka ndeke nze ebinemeredde
Buli bulabe buntambadde
Ne benayamba banfuukidde
Nze nfuuse emboozi zaabwe
Ddala era, nga bwewagamba asaba awebwa ne wombesse
Nsaba busabi Mukama tontanga no, kugwa
Gw'olimu emirembe gyange
Y'ani, tewali mulala amanyi ebyange!
Nditula ku mugongo gwa ggoonya taata ng'oli nange
Engo zirifuuka mikwano gyange
Amagunju galikuuma obukoko bwange
Abalabe balinviira mu matwale gange
Ng'oli nange, Mukama
Mukama, bwoba nange
Ebyange byonna
Mukama Katonda ggw'ofuga (oh-oh oh)
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga ah ah
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
Mukama Katonda ggw'ofuga ahah
Ggw'olaba, ggw'ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw'ofuga, ggw'olaba
(Ggw'olaba, ggw'ofuga)
(Ggw'ofuga, ggw'olaba)