0:00
3:02
Now playing: Asobola [ yesu asobola ]

Asobola [ yesu asobola ] Lyrics by Judith Babirye


Hmmm...
Osobola, Osobola Yesu wange

Mukama nfubye, ddala ngezezzako
Buli kyenkwata, kili nga muyonga
Tekiyimirila, nn’amanyi gampeddemu
Naye kangume, Yesu osobola
Kale laba eggulu, telirina mpagi
Ebinyonyi mu bbanga, tebilima meri
Bimuli kutale, tebibuka biro byabyo
Bwoba nga offayo kw’ebyo? Nange osobola okunyamba!

Yesu osobola, bonna nga bagenze
Buli we nnekwata. nga walinga kitengejja
Nkulabye nga oyamba ba mulekwa abatalina maama
Kankukowoole Yesu osobola
(Ddala Osobola) (Ssebo) Yesu osobola, bonna nga bagenze
Buli we nnekwata. nga walinga kitengejja
Nkulabye nga oyamba ba mulekwa abatalina maama
Kankukowoole Yesu osobola

Nze bwoba nga wankuma, n’omponya amagombe
Babirye nandifudde nandibadde mbuyaga ekkunta
Gyonzijje walaa, mmmh maziga mangi
Kkati newano wendi, Yesu osobola okunyamba nze

Yesu osobola, bonna nga bagenze
Buli we nnekwata. nga walinga kitengejja
Nkulabye nga oyamba ba mulekwa abatalina maama
Kankukowoole Yesu osobola
(Nga silina suubi) Yesu osobola, bonna nga bagenze
(Mukama nga nzigwelera) Buli we nnekwata. nga walinga kitengejja
Nkulabye nga oyamba ba mulekwa abatalina maama
(Nzuno nzize) Kankukowoole Yesu osobola

Oh! Jesu wange, Osobola, gwe asabola ebyange!
Oh my Jesus, you’re able, it’s you who can handle my issues.
Ngasilina suubi Jesu wange, nkukowoola
Osobola osobola, hey hey...
Ddala osobola, osobolera ddala
Eyamponya amagombe, Yesu osobola
Ddala osobola, osobolera ddala
Eyamponya amagombe, Yesu osobola okuyamba nze!

Yesu osobola, bonna nga bagenze
Buli we nnekwata. nga walinga kitengejja
Nkulabye nga oyamba ba mulekwa abatalina maama
Kankukowoole Yesu osobola

repeat chorus
[Fades out...]
(Hey! Ebyalema abasawo obisobola
obulamu bwange obusobola Mukama