Intro:
Ng’olwanira ki Carol?
Ng’oyomberaki Carol?
Nga nwaniraki Sheebah?
Ng’olwo nfa ki Sheebah?
Baur, Aki, Sabula
Holics
Verse 1: Carol
Bano abasajja tubalabukidde
Nabakazi ebitaala bibazikiridde
Kali ku buli akyanga mukwano
Ntumire n’omwami wange
Oli gwe njagala abitegeere
Hallo, yenze gw’oyagala
Akwagala atalikuyombera
Hullo, yenze gw’oyagala
Akwagala atalikulwanira
Saagala kulumya (saagala)
Kye kimu saagala kunnumya
Gwe manya ndi mu laavu
Naye no si lock
Katusaabale obuvuyo team no semba
Wano tulina okwenkana
Omulala lwafunye muggyawe
Ng’awera nkolokooto kutemaatema
Nze nkugamba omusajja kwata
Kozesa wuuyo bakuwe omusaala kale
Buli kimu era kikyo
Nze omusajja mukuuma naye
Chorus:
Silwana .. Mbu lwa nsonga ya mwami wange
Eno laavu kazannyo buzannyo
Siyomba .. Na mukyala munnange
Bye batulimba enjawulo temuli
Tolwana.. Mbu lwa musajja bw’aweta ensonda ky’okola
Tokola lutalo walaayi na mwana wabandi
Ssi ye yamukwana
Verse 2: Sheebah
Gwe manya abasajja (You know)
Teriiyo atuukiridde atacheatinga
Ndaba kisingako
Nga ky’akola ky’okola ne mu marchinga
Ono yakoowa okunyiiziira night and day
Omusajja acheatinga day by day
Gwe obalaba benkanankana leka naawe
Toba ng’atannalaba
Agamba nkooye nva mu meeting
Ate ebadde private meeting
Nowulira omutwe nga gukwetooloola
Mwaana wa maama osembera ki?
Nze agoba yange ku lwa meeting
Manyirawo agenze mu cheating
Nfunirawo omulala replacing
Tuvuganye mu laavu competing
Bwe mba nkwetaaga
Ne byoyita nabyo mbyetaaga
Naye ate buli lw’obinnyima
Olwo nfunirawo mangu shortcut
Chorus:
Silwana .. Mbu lwa nsonga ya mwami wange
Eno laavu kazannyo buzannyo
Siyomba .. Na mukyala munnange
Bye batulimba enjawulo temuli
Tolwana.. Mbu lwa musajja bw’aweta ensonda ky’okola
Tokola lutalo walaayi na mwana wabandi
Ssi ye yamukwana
Chorus 3: Both
Obudde bukuyitako nsaba ogiggyeyo
Laavu y’ekito eyo gy’odingisa
Ebyo by’onimbalimba ng’oyendayenda
Nfunirawo omulala gwe mbaatisa
Bwopima, ngo’budde bukuyitako
Oteranga n’odda ewaka babe
Nga wotuukira
Ompitirawo mu kisenge
Ne nkuwa ku ka massage
Eyo ye laavu enyuma,
Enyuma, enyuma, eh eh
Eyo ye laavu enyuma,
Enyuma, enyuma, eh eh
Chorus:
Silwana .. Mbu lwa nsonga ya mwami wange
Eno laavu kazannyo buzannyo
Siyomba .. Na mukyala munnange
Bye batulimba enjawulo temuli
Tolwana.. Mbu lwa musajja bw’aweta ensonda ky’okola
Tokola lutalo walaayi na mwana wabandi
Ssi ye yamukwana