Fresh Kid Eyoo!!! Buli rapper w’oli pamba mu mata ggyamu Eno sigituddeemu ngiyimiriddemu Bwe wabaayo asobola okunnyimiriramu Kati kati, Kati kati lumba A Fresh Kid De Texas A Bad Man Records, ayo
Nantameggwa mu kazannyo mumpite General Omuufu mu ndabika, mufuula ofwono Omumwa ngutambuza nga ngalo ku piano Ppeesa ku ppeesa nyiize nnyo ku luno Kakkana mbawe abo tebakola zoleyo Ye ssaawa bakole leka ebyalema mbawe Kambadduse ekisaawe batuuke bakoowe Nga mbaddusa lire n’akati kazitowe Yenze musika wa buli rapper anti baawanika Nga balloon nabanyiga nnyo baayabika Mu flampeni ya butto emitwe mwe naginnyika Ndi mukyamu mu Luga yenze agaba homework Paka paka nze ngya kubanyoola ng’enjoka Ninga shark mukene bw’ondaba dduka Nazuukuka nasamba essuuka Nava mu kwebaka Ba rapper e Butabika emitwe nze agikanika
Báilame como si fuera la última vez Y enséñame ese pasito que no sé Un besito bien suavecito, gwe gwe Taki taki Taki taki, lumba
14K Bwongo Hehehe 14K Bwongo Your top rapper, gwe Tukuuma pace ng’omukuumi wa peace Ng’afubuttula omubbi wa Samsung Galaxy Ku ky’ettaka anti mu track temuli chorus Tubasaanyawo nga Ethiopian Airlines Ku Hashtag tuli VIP Buli rapper RIP Zi ccepe ku combat yeffe abakuba empi Mu bumpiimpi gwe ampi Kubanga yeffe ba kkapi Temuba comfortable with your shit Ng’omuto mu nappi Ffe abagagga ba zi rhyme abo bonna ba copy Ssaawa ya twekwatako nga tattoo oba kisipi Ye ssaawa mudde mu kyalo anti tubaleetedde TP Enough, 14K Bwongo
Fresh Kid Nga ttanka ne wajjawo Omuchina n’Omujapan Neeyengodde okwewuunyisa Omulembe gwa Museveni Naye nze ndi tough nga soldier Omutalabaani Abakola amajaani bagende ewa Madhivani Sinnaba nno, eno ekyali ntandikwa Ng’eddagala elitta, ebiku n’enkwa Bwe nzita beat, ng’agiteze obutwa Ndeka bataawa, bwentyo ne nfuuwa oluwa
Temuggwaamu, mbakube kibooko Anti ku kijjulo yenze aliisa fork Mu class ya Luga yenze akwata chalk Mbeerarikiriza nnyo nga paper za mock Sho!!, nga ka cinema ka Wrong Turn Mu kisenge ekiro, ng’oli alone Mwe abaavu ba Luga mujje mbawe loan Anti ngabira mu dollar sikwata coin Noonyayo omubazzi ng’abajja zi coffin Oba akabiriiti n’amafuta ga yingini Nfunira olujegere n’omuyini gw’enkumbi Oba onfunire paasi eyokya okuva ewa ddobbi
Both Ggwe, kano ssi ka kigendererwa Tukuba ka ba fan Just tubadde Tu having-a fun Track tugisaanyizzaawo nga data Ku VPN Kati gwe Promoter bw’okatuulira kaliko landmine