In the name of the Father The son and the Holy Spirit A Fresh Kid Uganda De Texas Eno Beats
Buli lwe muneneŋŋana Ne musikaŋŋana Fresh Kid still Am a victim Mister Talanta yanguwa wano Nkukubira tokwata Yeggwe eyatandika bino Am a victim Oli mukulu nnyo mu kino Yeggwe nsonga lwaki Mbakubyemu ne kano Am a victim Mukama nnyamba nnyo ku luno Yonna gye biggwera Nneme kubeera nga Am a victim
Yo, it wasn’t my intention Saagala nnyo nakubateeka ku tension Fresh Kid kunze talent ngiyita vision Naye ndaba nga fruit egifuukidde poison Talent ssi prison Njagala genda maaso nnyo nnyo nga lotion Okay, gwe Mister Talanta oliwa Onnyonyole eggwanga? Nti oli wa ntondo nnyo Bwe batakufaako ogwa Ne Mister Education Am calling your phone Okimanyi nina mission Bwe mba mu depression Mbeera nkaluubiriza banno ba Mister Lesson Am your son It’s a big concern
Mister Talanta bakunoonya mutala ku mutala Nze byonna by’onkoledde Ne kye nkuwa ne kimbula Lwakuba waliwo eyo abakucupula Mbu abafera ennamba yo Ba victim mu kye bakola Nga bwe mukwatagana ne Mister Education Temwevaamu mubeere wamu mu nation Saagala victim mulala mu generation Muwulire eddoboozi Mujje tugatte emboozi Nze ndaba nga ffe abakyali ku Front Page Ekitabo kya fite (50) kisome paka last page Nze ndaba ng’abali mu kiyuzaamu empapula Kinnuma kuba ze bayuza zensinga okwagala
Mukama nkimanyi yonna gy’oli ompulira Byonna ebigenda maaso nkimanyi obilengera Nsaba nga bulijjo ne leero tondekerera Nteekaako omukono gwo N’ekisa kyo gye njolekera Sijja tuula ng’amata gabimbye bwe gayiika? Bweganaakalira ne gaggwa Mu sseppiki oba ebbinika? Mba ntuuse ogisiiba sinakindi ogisula Ky’ova olaba nvuddeyo Mbeeko ne kye nkola Sijja kubeera victim Kambeere survivor not a victim Nandibadde nsirika buli kimu ne nkireka Naye ate future mbeera ngiziika